TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abasuubuzi b'engatto beetisse eky'e Nakawa

Abasuubuzi b'engatto beetisse eky'e Nakawa

By Samson Ssemakadde

Added 1st August 2019

Canvas United ayabasuubuzi b'engatto, ewangudde Matooke FC n'esitukira mu kikopo ky'abasuubuzi b'omu katale k'e Nakawa

Canvaswebnew 703x422

Loodimeeya Erias Lukwago (ku kkono) ng'akwasa aba Canvas United ekikopo

Abategesi 0-2 Vision Group

Matooke FC 0-2 Canvas Utd

EKIKWA kya ttiimu y’abasuubuzi b’amatooke ky’eyongedde okweyoleka bwe baakubiddwa Canvas United ggoolo 2-0, ku fayinolo y’empaka z’abasuubuzi abakolera mu katale k’e Nakawa. Kino kikopo Canvas United ekyomunaana, era y’erina likodi ya ttiimu esinze okukiwangula.

Wadde Matooke FC be bakyasinze okutuuka ku fayinolo y’empaka zino (emirundi ena), tebalozanga ku buwanguzi bubawa kikopo. Mu 2015 ttiimu y’abookya ebyuuma yabawangula 5-0,  ey’Obuveera n’ebakuba 2-1 mu 2016, sso ng’eyamaduuka  (Vendors Square) n’ebawuttula 3-1 mu 2017. 

Ttiimu y’abasuubuzi b’enaanansi yakutte kyakusatu  oluvannyuma lw’okukuba ggoolo 5-4. Mu gw’omukwano, Vision Group yakubye eyabategesi 2-0.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana