TOP

Cranes ewuttudde Somalia mu za CHAN

By Silvano Kibuuka

Added 4th August 2019

Cranes ewuttudde Somalia mu za CHAN

Wab1 703x422

Kaddu Paul ng'attunka n'omusambi wa Somalia

Cranes (CHAN) 4-1 Somalia (CHAN)

Oluzannya olwasooka:

Somalia (CHAN)  1 – 3 Cranes (CHAN)

Cranes ya CHAN (ey’abasambi abasambira awaka wokka) ekubye Somalia ggoolo 4-1 abawagizi ne bawaga mu kisaawe kya Star Times e Lugogo.

Cranes ewangudde Somalia omugatte ggoolo 7-2 mu nzannya zombi.

Abadde Patrick Kaddu eyateebye ggoolo ssatu (peneti bbiri n’eyomutwe emu) okweyongedde eya Allan Kyambadde olwo Cranes n’emeggwa Somalia mu mupiira ogwokusinsulamu abanaasamba ez’akamalirizo eza AFCON eza CHAN omwaka ogujja e Cameroon.

Kati Kaddu alina ggoolo 4 mu mpaka zino oluvannyuma lw’okuteeba emu mu luzannya olwasooka e Djibouti nga June 27.

Kati Uganda erinze anaayitawo wakati wa Burundi ne South Sudan nga basamba leero (Sunday) era e Lugogo ku kisaawe kya Star Times Stadium.

Omutendesi Abdallah Mubiru agambye nti abasambi bagoberedde by’abadde abatendeka wadde nga bakyabulamu.

“Wadde ebimu tebabituukirizza, omupiira baadde bagugaba n’okugwesigaliza. Ebitendekebwa abasambi si byangu kukwata mulundi gumu era bajja kulinnisa omutindo”, Mubiru bwe yategeezezza.

Wabula owa Somalia, Bashiru Heyford enzaalwa ya Ghana yeevumye ntalo mu Somalia ze yagambye nti amasasi agavuga buli kiseera tegasobozesa nkulakulana ya mupiira ntuufu n’agamba nti “Abantu abo mu basabire”.

Bbo abawagizi ba Somalia beeyiye mu bungi e Lugogo okuwagira ttiimu yaabwe nga ne bwe bagiteeba basigala bawaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira