TOP

Eya ddigi eyungudde 37

By Ismail Mulangwa

Added 5th August 2019

Maxime van Pee waakuddamu okuduumira ttiimu ya ddigi ng'enoonya obuwanguzi mu mpaka za Afrika.

Uganda 703x422

Abamu ku bavuzi ba ddigi abali ku ttiimu.

Ttiimu ya Uganda eya ddigi esunsudde bakafulu mu kubonga ddigi okuttunka mu mpaka za FIM Africa Motorcross Championship ezigenda okubeera e Zimbabwe omwezi guno.

Abavuzi 37 bakakasiddwa dda nga bwe bagenda okwetaba mu mpaka zino okulaba ng’eggwanga livaayo n’obuwanguzi omwaka guno.

Abamu ku bavuzi kuliko; Fortune Sentamu, Sharifa Kateete, Ester Mwangala, Barak Orland, Stav Orland, Alon Orland, Kreidah Nsubuga, Emmanuel Lubega, Darel Muhindo, Jonathan Katende, Miguel Katende, Liam Ntale, Malcome Lubega, Ali Omar Yasser, Waleed Omar, Kylan Wekesa, Akaki Milton Obote, Akena Milton Obote, Wazir Omar n’abalala.

 saf atan yomu ku bali ku ttiimu Asaf Natan y'omu ku bali ku ttiimu.

 

Omwaka oguwedde Uganda yakwata kyakusatu nga ku mulundi guno kapiteeni wa ttiimu ya ddigi Maxime Van Pee, akakasizza nga bwe bagenda okuwangula engule eno.

“ Twetegese ekimala nga era buli muvuzi ali mu mbeera nnungi emusobozesa okuvuga era eggwanga tugenda kulikiikirira bulungi mu mpaka zino,” Van Pee bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...