TOP

Derby eyise Wayne Rooney emuwe omulimu

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2019

Derby eyagala kuwa Rooney mulimu, asikire Lampard eyagenze mu Chelsea

Rooney88 703x422

rooney

WAYNE Rooney, eyali ssita wa ManU, yalinnye ennyonyi kipayoppayo okugenda  e Bungereza atandike enteeseganya ne Derby County.


Rooney asambira mu DC United eya liigi ya Amerika era endagaano gy’alina nabo, ebuzaako omwaka gumu n’ekitundu eggweeko. Wabula bwe yawulidde nti Derby emunoonya emuwe omulimu, n’adduka za mbwa agende ateese nabo.


Kigambibwa nti abakungu ba Derby, banoonya mutendesi anaasikira Frank Lampard eyaweereddwa ogw’okutendeka Chelsea. Sizoni ewedde, Derby kata yeesogge Premier wabula Aston Villa n’egiremesa bwe yagikubira mu kakung’uunta akaali kasembayo, akaali kagireeta mu Premier.

Derby County eyagala okutwala Rooney, bamuwe ogw’obuzannyi nga mu kiseera kye kimu nga ye mutendesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana