TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Abazannyi b'ekigwo balabudwa ku kuzanyira mu muddo

Abazannyi b'ekigwo balabudwa ku kuzanyira mu muddo

By Silvano Kibuuka

Added 6th August 2019

Abazannyi b'ekigwo ekinnansi bawonye okuzannyira mu muddo, bwe babaleetedde ekiwempe 'ekizungu'

Wrestlingweb 703x422

Omutendesi w'ekigwo ekizannyibwa mu Olympics, Nico Coetzee ng'alaga abatendesi be yabadde ayigiriza obukodyo mu muzannyo gw'ekigwo

Pulezidenti w’ekibiina ky’omuzannya gw’ekigwo ekya Uganda Wrestling Federation (UWF), Salim Musoke akubirizza abazannyi n’abategesi b’ekigwo okukomya okumegganira ku muddo kubanga baleese ekiwempe ‘Ekizungu’.

Akubirizza n’abaddunkya omuzannyo guno okwettanira okukozesa abatendesi ne baddiifiri abaabanguddwa ku mutindo gw’ensi yonna.

Abyogedde aggalawo omusomo gw’abatendesi 15 ne baddiifiri bataano abaafunye ebbaluwa z’eddaala erisooka okuva mu kibiina ky’ensi yonna ekifuga omuzannyo gw’ekigwo, ekya United World Wrestling ogumaze wiiki emu mu wooteeri ya Imperial Royale mu Kampala.

Omusomo gwaddukanyiziddwa abatendesi Nico Coetzee (ow’abatendesi) ne Charles Villet (owa baddiifiri) okuva mu South Afrika, ne basuubiza aba UOC ne NCS okugutumbula mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hit2 220x290

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA...

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA

Kam1 220x290

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite...

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite

Lop2 220x290

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye...

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye gwa mmundu

Lop2 220x290

Taata wa Babirye ayogedde ku biriwo...

Taata wa Babirye ayogedde ku biriwo

boogera Baliraanwa ba Babirye boogedde...

boogera Baliraanwa ba Babirye boogedde