TOP

Lukaku asaze ManU ekikuubo

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2019

Inter Milan erudde ng'eperereza Lukaku wabula ku Mmande yasaze ManU ekikuubo n'agenda n'atendekebwa ne Anderlecht gye yazannyirako.

Lukaku111 703x422

Lukaku

ROMELU Lukaku, asaze ManU ekikuubo n’agenda okutendekebwa ne Anderlecht gye yava.

Emipiira 6 gyonna ManU gy’ezannye nga yeetegekera sizoni, Lukaku tagibaddemu ng’alina obuvune mu kakongovvule kyokka Inter Milan ne Juventus ezaagala okumugula, zibadde ziteesa n’abakungu ba ManU.

Kigambibwa nti ku Mmande, Lukaku yaweereddwa olunaku awummulemu nga tannaddamu kutendekebwa na ManU wabula kye yakoze kwe kugenda mu ttiimu ya Anderlecht ey’abali wansi w’emyaka 18 n’atendekebwa nabo nga ManU temuwadde lukusa.

Ng’atandika okuzannya omupiira gwa pulofeesono, Lukaku yatandikira mu Anderlecht n’agenda mu Chelsea gye yava okugenda mu West Brom, Everton ng'eno ManU gye yamugula.

Inter Milan ekola bukubirire, emukanse ng’akatale k’abazannyi tekannaggalwawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana