
Julius Kizito owa Namakaka (ku kkono), ne Moses Mukwaya ow'Embogo. Embogo yawangudde ggoolo 4-2 omugatte, ne yeesogga semi
Lwakuna Mu Bika by’Abaganda e Wankulukuku;
Kinyomo – Kkobe 10:00
Ogwazannyidwa
Mbogo 3-1 Namakaka
TTIIMU y’Ekkobe ekomeddewo Ekinyomo mu mpaka z’Ebika by’Abaganda, n’ekigendererwa ky’okwesogga semi.
Mu gwasookawo e Wankulukuku, Ekkobe lyakuba Ekinyomo ggoolo 3-0, nga kati banoonya maliri mu gw’okudding’ana ku Lwokuna beeyongereyo.
Wabula n’Abekinyomo baweze nga bwe bagenda okwewuunyisa Ekkobe nga baliwangula, baliwandule mu mpaka zino.
Ttiimu eneeyitawo ku Kkobe n’Ekinyomo yakusisinkana anaabeera ayiseewo ku Nkima oba Ente.
Mu mirala, bazzukulu ba Kayiira, Abembogo balinze anaayitawo wakati w’Effumbe n’Empindi. Embogo yawangudde Mmamba Namakaka ggoolo 3-1, n’egiwandula ku mugatte gwa ggoolo 4-2. Mu gwasooka baali bagudde maliri (1-1).