TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Zidane asudde Bale ku ttiimu egenze mu Amerika

Zidane asudde Bale ku ttiimu egenze mu Amerika

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2019

Bale yaakazannyira Real emipiira 155 n'agiteebera ggoolo 78. Awanguliddemu ebikopo bya Bulaaya bina.

2017realmadridbale21 703x422

Gareth Bale (ku kkono) ng'attunka ne Vincent Kompany eyali owa Man City mu Champions League.

Enkolagana ya Zinedine Zidane n’omuteebi we Gareth Bale buli olukya yeeyongera okugootaana.

Omuzannyi ono abadde alowooza nti eky’okuba nti waakusigala mu Real Madrid kinaamuyamba omutendesi Zidane okumumatira, byagaanyi era yamusudde ku ttiimu gye yatutte mu Amerika.

Real Madrid egenda kuttunka ne RedBull Salzburg mu kiro kya leero kyokka Bale y’omu ku bazannyi abaasuuliddwa. Ono yeegattiddwaako James Rodriguez ne Mariano Diaz ku bazannyi abataagenze mu Amerika ensiike y’omukwano wakati wa ttiimu zombi gy’egenda okubeera.

Kyategeezeddwa nti Bale tali ffiiti kimala oluvannyuma lw’okusubwa emipiira gy’omukwano egisembyeyo Real gy’esembyeyo okuzannya.

Bale asuubirwa okusigala mu Real oluvannyuma lwa pulezidenti wa Real, Florentino Perez okusazaamu ddiiru y’okumutunda mu China.

Bale, eyava mu Spurs, yagaanyi eky’okudda mu Bungereza wadde nga waaliwo ttiimu ezaali zimwegwanyiza.

Kigambibwa nti Zidane yali asazeewo okutunda Zidane ng’agamba nti talina nnamba mu ttiimu ye wabula omuzannyi ono yali akyagaanyi okugenda ng’agamba nti akyayagala okusigala mu Real.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Get2 220x290

Engeri aba Middle East gye baferamu...

Engeri aba Middle East gye baferamu abantu

Mid2 220x290

Eby'okukwata owa Middle East ku...

Eby'okukwata owa Middle East ku by'okufera abantu biranze

Hit2 220x290

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA...

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA

Kam1 220x290

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite...

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite

Lop2 220x290

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye...

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye gwa mmundu