TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Eyali omuzannyi wa Arsenal agirabudde ku kukansa David Luiz

Eyali omuzannyi wa Arsenal agirabudde ku kukansa David Luiz

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2019

Luiz abadde yaakassa omukono ku ndagaano empya ya myaka ebiri mu Chelsea. Asuubirwa okussa omukono ku ndagaano ya bbanga lye limu mu Arsenal.

2016chelsealuiz 703x422

David Luiz omuzibizi Arsenal gw'eperereza okuleeta.

EYALIKO omuzibizi wa Arsenal, Martin Keown alabudde omutedesi wa ttiimu eyo, Unai Emery nti okukansa omuzibizi David Luiz kya bulabe nnyo.

Luiz, 32, owa Chelsea ali ku ndeboolebo ya kugenda mu Arsenal ku bukadde bwa pawundi munaana, ekintu Keown ky’awakanya.

Omubrazil ono yeecanze ku ssaawa envannyuma n’agaana okutendekebwa mu Chelsea ssaako okwekola obusolosolo ekyamuviiriddeko Chelsea okumuta.

Keown agamba nti, Luiz si ye muzannyi Arsenal gwe yeetaaga kuba akola nnyo ensobi ekiyinza okuviirako ttiimu okuteebwanga.

“Muzannyi mulungi mu kugaba omupiira kyokka tamanyi kukuuma mulabe era emirundi mingi Chelsea ekubiddwa ggoolo lwa nzibira mbi eya Luiz,” Keown bwe yagambye.

Luiz yaliko mu PSG ng’etendekebwa Unai Emery kati ali mu Arsenal era kigambibwa nti kyamwanguyidde okumukkirizisa okujja mu Arsenal.

Mu ngeri y’emu, Arsenal yakkirizza okukansa omuzibizi wa Celtic, Kieran Tierney azannye nnamba ssatu. Omuzannyi ono mu kiseera kino ali mu kugezesebwa abasawo ba Arsenal.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Get2 220x290

Engeri aba Middle East gye baferamu...

Engeri aba Middle East gye baferamu abantu

Mid2 220x290

Eby'okukwata owa Middle East ku...

Eby'okukwata owa Middle East ku by'okufera abantu biranze

Hit2 220x290

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA...

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA

Kam1 220x290

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite...

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite

Lop2 220x290

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye...

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye gwa mmundu