TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Hazard ateebye ggoolo yeggyeeko ekikwa mu Real

Hazard ateebye ggoolo yeggyeeko ekikwa mu Real

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2019

Hazard yagulwa mu Chelsea ku bukadde bwa pawundi 80 mu katale akanaatera okuggwa.

2019realmadridhazard 703x422

Karim Benzema owa Real (ku kkono) ng'asanyukira ggoolo ne Hazard.

SSITA wa Real Madrid, Eden Hazard yeggyeeko ekikwa bwe yateebye ggoolo ye esooka mu mujoozi gwa ttiimu eno.

Hazard, eyagulwa mu Chelsea ku bukadde bwa pawundi 80, yateebye mu ddakiika y’e 19 bwe baabadde bambalagana ne Salzburg mu gw’omukwano mu kiro ekyakeesezza Olwokuna.

Hazard abadde yaakazannya emipiira gyonna ena mu kwegezaamu abadde ayogerwako nti omugejjo gumuli bubi era kye kimulemesezza okwaka mu nsiike ezisembyeyo.

Guno gwabadde mupiira gwakubiri gwa muddiring’anwa nga Real ewangula mu gy’omukwano nga baasoose kuwangula Fenerbahce eya Turkey.

Real yaakutttunka ne AS Roma ku Ssande mu kaweefube waayo ow’okwetegekera sizoni eneetera okutandika. Ku Lwomukaaga, Real egenda kuttunka ne Celta Vigo mu gwe baggulawo nagwo liigi ya Spain.

Omutendesi wa Real, Zinedine Zidane ayagala kuzzaawo kitiibwa kya Real ng’awangula ekikopo kya liigi ekya sizoni eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gendayo 220x290

Kiki ekinakuwazza Naava Grey?

NAYE kiki ekyanyiizizza omuyimbi Naava Grey alyoke anakuwalire ku mukolo gwa munne bw’ati!

Dece 220x290

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu...

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga...

Kola703422 220x290

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala...

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...