TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Mourinho alumbye Lampard olw'okukubwa ManU

Mourinho alumbye Lampard olw'okukubwa ManU

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2019

Guno gwe mupiira gwa Premier Lampard gw'asoose okubeera mu mitambo gya Chelsea bukya alya butendesi obwo.

2019manuvchelsea15 703x422

Lampard ng'ayogerako n'omuzannyi we Mount.

EYALI omutendesi wa Chelsea ne ManU, Jose Mourinho alumbye Frank Lampard kati atendeka Chelsea nti ensobi ze yakoze ku Ssande, ze zaamuviiriddeko okukubwa.

ManU yatimpudde Chelsea ggoolo 4-0 mu gwe bagguddewo nagwo Premier kyokka Mourinho, eyaliko omutendesi wa Lampard mu Chelsea, agamba nti ennonda ya ttiimu yakoze kinene mu kubakubya.

Mourinho agamba nti okutandisa Mason Mount ne Tammy Abraham yabadde nsobi kuba abazannyi abo omupiira ogwa puleesa nga guno baabadde tebasobola kuguggyamu kiramu.

 ndreas hristensen owa helsea ku kkono ngattunka ne nthony artial an yawangudde ggoolo 40 Andreas Christensen owa Chelsea (ku kkono) ng'attunka ne Anthony Martial. ManU yawangudde ggoolo 4-0.

 

Mu nsiike eno, abazannyi okuli; Olivier Giroud, Marcos Alonso ne N’Golo Kante baatandikidde ku katebe, Mourinho ky’agamba nti kyabadde kikyamu.

Mu ngeri y’emu, Mourinho avumiridde eky’okuleka Willian ebbali n’agamba bw’aba teyabadde na buvune, yandibadde atandika.

Lampard yafuuse omutendesi wa Chelsea owookubiri okukubwa omupiira oguggulawo okuva Avram Grant naye lwe yakubwa ManU (2-0) mu September wa 2007.

Lampard, era yafuuse omutendesi wa Chelsea asoose okukubwa obubi ennyo okuva mu 1978, Middlesbrough lwe yabakuba ggoolo 7-2.

Guno gwe mulundi ManU gwe yasoose okukuba Chelsea obubi ennyo bw’etyo mu myaka 54.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...