TOP

Bannabuddu bafunye essuubi mu Masaza

By Moses Kigongo

Added 12th August 2019

Essaza lya Buddu liwangudde Bulemeezi mu mipiira gy'Amasaza ne liwera okufiira ku Mawogola lisobole okwesogga 'quarter'

Bulemeeziweb 703x422

Abazannyi ba Buddu oluvannyma lw'omupiira mwe baawangulidde Bulemeezi ggoolo 2-1

Buddu 2-1 Bulemeezi

Bugerere 2-1 Buvuma

Ssese 2-0 Gomba

Mawokota 2-0 Kooki

BUDDU ekomyewo mu kibalo ky’okuva mu kibinja ky’empaka z’Amasaza oluvannyuma lw’okuwangula Bulemeezi  ggoolo 2-1. Kati Buddu (mu kyokusatu) esibaganye ne Bulemeezi (mu kyokubiri) ku bubonero 12 mu kibinja kya Butikkiro , era ewera kufiira ku Mawogola bwe battunka mu mupiira ogunasembayo, yeeyongereyo ku ‘quarter’.

Ekibinja kikulembedwa Mawokota ku bubonero 14, sso nga Kooki (6)  eri mu kyakuna,  olwo Mawogola n’ekoobera  ku bubonero  5.

Bugerere nayo yatangaazizza emikisa gy’okuva mu kibinja kya Masengere bwe yakubye Buvuma ggoolo 2-1, sso nga Ssese yamazeewo essuubi lya Gomba ery’okuva mu kibinja sizoni eno bwe yagikubidde mu maka gaayo e Lutoboka, ggoolo 2-0.

Ekibinja kino kikulembeddwa Ssingo ku bubonero 14, Bugerere esibaganye ne Ssese  ku  13, Gomba ku 9 ne  Buvuma eterinaayo kabonero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.