TOP

USPA yaakuddaabiriza ekizimbe ky'aboobubenje e Mulago

By Gerald Kikulwe

Added 12th August 2019

EMYAKA 18 ng’ekibiina omwegattira bannamawulire abasaka ag’emizannyo (USPA) bakola ebikwekweto by’okulwanyisa obubenje ku nguudo, nga bali wamu ne Standard Chartered bank, omwaka guno baakuddaabiriza ekizimbe omujjanjabirwa abafunye obubenje mu ddwaliro e Mulago.

Dsc00717561 703x422

Mu kwanjula enteekateeka y’omwaka guno, ku Mmande, Edward J Muwanga Barlow okuva mu Standard Chartered Bank yakwasizza Patrick Kanyomozi Pulezidenti wa USPA Cheeke ya bukadde butaano(5,000,000)ng’entandikwa y’okutambuza enteekateeka z’omwaka guno okulwanyisa obubenje ku nguudo.

Omulamwa gw’omwaka guno guli; ‘Tugondere amateeka g’ekkubo’ era nga bwe gwali omwaka oguwedde, emikolo emikulu egy’okusomesezaako eggwanga ku bubenje n’okubwewala gyakubeerawo nga August 24, 2019 mu kibangirizi kya Mayors Garden e Lugazi.

Muwanga Barlow agamba nti kati emyaka 12 nga standard chartered bank ekolagana ne USPA wabula ebikwekweto n’okusomesa babadde basinga kubitambuliza ku bantu baabulijjo wabula ku luno baakutuukirira abakoseddwa obubenje mu malwaliro olwo baddaabirize n’ekizimbe omujjanjabirwa abafunye obubenje(Casuality Ward).

Kanyomoozi Pulezidenti wa USPA yasiimye aba Standard Chartered Bank olwokubadduukirira mu kaweefube w’okutaasa eggwanga ku kufiira mu bubenje era tebagenda kuddiriza muliro ku nsonga z’obubenje.

“Bannayuganda bannange, obulamu kya bbeeyi, ate tebuzzikawo, twewale okwogerera ku massimu nga tuvuga, okuvuga nga tutamidde ate tugondere amateeka g’ekkubo,” Kanyomozi bwe yakkaatirizza.

USPA ekola ebikwekweto bino nga bajjukira bannamawulire ab’afiira mu bubenje e Kikaawula Lugazi mu 2001 okuli; Leo Kabunga, Francis Batte Junior, Kenneth Matovu, Simon Peter Ekarot n’abalala abazze bafa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...