TOP

Ggoolokipa Alisson ogwa Chelsea agusubiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

Alisson yafunye obuvune nga Liverpool ezannya Norwich era kati omupiira gw'enkya ku Lwokusatu nga bazannya Chelsea, tagenda kuguzannya.

Alisson11 703x422

Alisson

GGOOLOKIPA wa Liverpool, Alisson Becker, asubiddwa ensiike ya Liverpool ne Chelsea mu Super Cup lwa buvune.

Nga bamegga Norwcih ggoolo 4-1, Alisson ye yasoose mu ggoolo wabula yafuniddemu obuvuner era n’afulumizibwa mu kitundu ekisooka.

Omutendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp agamba nti abasawo beekebezze Alisson, baakizudde nti alina okusooka okujjanjabwa waakiri wiiki nga 3 alyoke addemu okuzannya. Obuvune yabufunye mu ntumbwe.

Liverpool, erinze kwambalagana ne Chelsea mu Super Cup enkya ku Lwokusatu era yaakuwa Adrian mukisa gukwata mupiira guno nga bwe yakikoze ku gwa Norwich. Wabula era beetegese okukansaayo Andy Lonergan abadde akwatira Middlesbrough.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye

Lop1 220x290

Ebya Museveni ne Kagame bireka...

Ebya Museveni ne Kagame bireka wa basajja ba Kayihura

Hit1 220x290

Aba Bobi Wine baddizza Otafire...

Aba Bobi Wine baddizza Otafire omuliro

Lab1 220x290

Micheal Muhumuza amanyiddwa nga...

Micheal Muhumuza amanyiddwa nga Ssuula Mpya akubirizza abazadde okuweerera abaana

Dot1 220x290

Ab’e Kakuuto basse omukago n’Abatanzania...

Ab’e Kakuuto basse omukago n’Abatanzania okwekulaakulanyaBa