TOP

Ey'e Saudi Arabia ejunye Hassan Wasswa

By Hussein Bukenya

Added 13th August 2019

Hassan Wasswa, awonye akatebe, ttiimu y'e Saudi Arabia bwemukansizza

Wasswaweb 703x422

Wasswa (mu maaso) mu kutendekebwa kwa Cranes gye buvuddeko

OMUZIBIZI wa Cranes, Hassan Wasswa awonye akatebe, Al-Ittihad Jeddah ey’e Saudi Arabia bw’emuguze agizannyire okumala emyaka ebiri. Wasswa abadde talina ttiimu okuva lwe yasalwako Tala’ea El Gaish (Misiri) ku ntandikwa y’omwaka guno.

Yasitudde ku Mmande okugenda e Saudi Arabia okumaliriza emisoso gyonna era obudde bwonna baakumwanjula eri abawagizi.  

“Ndi musanyufu nnyo olwa ttiimu eno okundabamu ekitone era ng’enda kulwana nnyo okulaba nga ngikolerera etuuke ku buwanguzi,” Wasswa bwe yategeezezza.

Al-Ittihad Jeddah ezannyira mu kibinja kya babinywera, era sizoni ewedde yamalira mu kifo kya 10 nga ku mipiira 30 ewanguddeko 9, amaliri 7 ne bagikuba 14.

Wasswa omupiira yagutandikira mu Kampala United. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Atambulira ku muyimbi DJ Kikoofi...

Atambulira ku muyimbi DJ Kikoofi ira alemeddeko

Lwe2 220x290

Musajja ki ono azinisa Nantongo...

Musajja ki ono azinisa Nantongo amazina ga weetiiye

Bak2 220x290

Mpologoma ne Chamilli oba bali...

Mpologoma ne Chamilli oba bali ku bubadi ki?

2018liverpoolshakiriceleb 220x290

Omuwuwuttanyi Shaqiri atadde Klopp...

Omuzannyi ono yazannyirako Bayern ne Stoke City gye yava nga ttiimu eno emaze okusalwako.

Kop2 220x290

Omukulu tabulako baleebeesi

Omukulu tabulako baleebeesi