TOP

Asibiridde banne entanda

By Ismail Mulangwa

Added 13th August 2019

Kafulu wa ddigi Aviv Orland asabye banne obutatiitira nga batuuse mu mpaka za Afrika.

Aviv 703x422

Abavuzi ba ddigi nga battunka.

Nga ttiimu y’eggwanga eya ddigi yeetegekera empaka za Afrika eza ‘FIM Africa Motorcross Championship’ ezigenda okubeera e Zimbabwe nga August 30, Aviv Orland akubirizza banne okuba abavumu basobole okufunira eggwanga obuwanguzi.

Aviv y’omu kw’abo abavuzi abatiibwa mu mpaka zino olw’obumanyirivu n’omutima gw’alina era abamu ku bavuzi b’omu Afrika bamuwanda lulusu wadde nga ku mulundi guno tagenda olw’obuvune bwe yafuna mu kugulu.

 viv ngali ku ddigi ate ku kkono nga bwafaanana Aviv ng'ali ku ddigi ate ku kkono nga bw'afaanana.

 

Okuwa banne obubaka buno, yasinzidde mu kutendekebwa okwabadde e Busiika. Yagambye nti, “Ng’enda kusubwa empaka zino wabula kino tekibamalaamu maanyi. Wadde siriiwo, ttiimu eriko abavuzi abalungi era mwenna mulina okusigala nga mwekkiririzaamu.”

Omwaka oguwedde, Uganda yakwata kyakusatu e Zimbabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mid2 220x290

Eby'okukwata owa Middle East ku...

Eby'okukwata owa Middle East ku by'okufera abantu biranze

Hit2 220x290

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA...

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA

Kam1 220x290

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite...

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite

Lop2 220x290

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye...

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye gwa mmundu

Lop2 220x290

Taata wa Babirye ayogedde ku biriwo...

Taata wa Babirye ayogedde ku biriwo