TOP

Shafiq Bisaso agudde mu bintu

By Gerald Kikulwe

Added 15th August 2019

Shafiq Bisaso abadde atendeka Proline agenze Sweden kwongera kubangulwa

Shafiqbisasoweb 703x422

Bisaso(ku kkono) ng'aliko by'afalaasira abazannyi

NGA  Proline yeetegekera  okudding’ana ne Masters Security  mu CAF Confederations Cup, abakungu baayo basindise abadde omutendesi Shafik Bisaso, e Sweden okwongera okubangulwa.

Ku Lwokusatu, Proline yakubiddwa ggoolo 5-4 eza paneti, mu mpaka za ‘Pisner Super 8’ ez’okulwanira ebifo (5-8), nga mu ddakiika 90 baasose kulemagana  1-1. Kati Proline yaakwambalagana ne Tooro United nga balwanira anaakwata ekyomusanvu, sso nga URA erinze Wakiso okuvuganyiza ku kyokutaano.

Bisaso asindikiddwa mu Eskilsmine FC ey’ekibinja ekyokuna mu liigi y’e Sweden gy’anaamala emyaka ebiri ng’abangulwa wansi w’abatendesi baayo, n’oluvannyuma akomewo akwatagane n’abatwala Proline okulaba nga bagiteeka ku mutindo gw’ensi yonna.

“Kino tekigudde bugwi. Ttiimu emaze emyezi egiwerako ng’ekifumba okutuusa lwe kyawedde,” Bisaso eyabadde mu mitambo gya ttiimu eno omulundi ogusembayo ku Lwokusatu, bwe yategeezezza.

“Eskilsmine FC yatuwadde omukisa okusindikayo omutendesi omu, era twabadde tetusobola kwekiika mu kkubo lya Bisaso,” Mujib Kasule, nnannyini Proline bwe yategeezezza.

Baker Mbowa ne Isa Sserwanja be basigadde mu mitambo gya ttiimu eno okutuusa ng’erangiridde ekiddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira