TOP

Abeebikonde boongeddwaamu ebirungu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2019

Ttiimu y'eggwanga eyeebikonde yeeyongeddemu ebbugumu olw'ensimbi ezibasuubiziddwa

Boxing22web 703x422

Ttiimu ya The Bombers mu kkomera e Luzira gy’abadde yakuba enkambi. Wakati mu nkonfiira enzirugavu ye Moses Muhangi. Amuddiridde ku kkono y’amyuka akulira emizannyo e Luzira ASP Robert Lwanve ne ASP Papus Muhurizi, ow’ensambaggere ne taekwondo.

Bya Fred Kisekka

EKIBIINA ekiddukanya ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF), kitaddewo kavvu ku buli mudaali ogunaawangulwa abazannyi ba ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’.

Abeebikonde be bamu ku bazannyi ba Uganda abagenda mu mizannyo gya Afrika egitandika nga August 19, mu kibuga Rabat ekya Morocco, gikomekkerezebwe nga August 31.

Moses Muhangi,  pulezidenti wa UBF, yagambye nti buli anaawangula omudaali gwa zaabu waakuweebwa 2,000,000/-,  feeza (1,500,000/-)  ate ow’ekikomo afune 1,000,000/-.

“Twagala abazannyi baffe bazannye ng’emitima gibali wamu, kye tuvudde tubateerawo ebirabo bino,” Muhangi bwe yannyonnyodde.

The Bombers yagendeddemu abazannyi munaana, abasajja mukaaga; Shadir Musa Bwogi, Isaac Masembe, Champion Busingye, Joshua Tukamuheebwa, David Kavuma Ssemujju, Solomon Geko,  n ’abawala babiri; Jalia Nali ne Hellen Bakaleke.

Ttiimu ya The Bombers  mu kkomera e Luzira gy’abadde yakuba enkambi. Wakati mu nkonfiira enzirugavu ye Moses Muhangi. Amuddiridde ku kkono  y’amyuka akulira emizannyo e Luzira ASP Robert Lwanve ne ASP Papus Muhurizi, ow’ensambaggere ne taekwondo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...