TOP
  • Home
  • Rally
  • Bakateete basatizza ttiimu ya ddigi

Bakateete basatizza ttiimu ya ddigi

By Ismail Mulangwa

Added 15th August 2019

Obutabawo bwa taata, bwandiremesa Bakateete okukiikirira Uganda mu mpaka za Afrika eza ddigi.

Kateete 703x422

Okuva ku kkono Shamirah Kateete, Sharifah Kateete, Shadia Kateete ne Talha Kateete

Ttiimu ya Uganda eya ddigi eguddemu nnabe, famire y’aba Kateete bweraze nga bw’eyinza obuteetaba mu mpaka za Afrika eza ‘FIM Motocross Championship’ ezigenda okubeera e Zimbabwe omwezi guno nga 30.

Sharifah, Shadiah, Talhah ne Shamirah Kateete be bamu ku bavuzi 37 abalangirirwa ku ttiimu egenda okukiikirira Uganda wabula okusinziira ku nnyabwe Nampijja Kateete, taata w’abaana be (Adbu Kateete) tali mu ggwanga ekitadde essuubi ly’abaana be okwetaba mu zino mu lusuubo.

 harifah ateete ku ddigi Sharifah Kateete ku ddigi

 

“Tulinza obutagenda Zimbabwe kubanga bba wange taliwo. Waliwo eyabadde ayagala okutwalako omwana omu wabula tetunnamanya oba anaatukiriza okusaba kwe,” Nampijja bwe yagambye.

 hadiah ateete ku ddigi Shadiah Kateete ku ddigi

 

Uganda omwaka oguwedde yamalira mu kifo kyakusatu mu mpaka zino wabula ng'omwaka guno yeetaaga okugenda n'abavuzi abawera okutangaza emikisa egiwangula engule eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...