TOP
  • Home
  • Rally
  • Musaayimuto yeepikira mmotoka za mpaka

Musaayimuto yeepikira mmotoka za mpaka

By Nicholas Kalyango

Added 16th August 2019

Ku myaka 16, musaayimuto Ali Yasser Omar awera kumegga bavuzi baasanze mu mmotoka z'empaka. Ku Ssande waakwetaba mu mpaka z'e Kapeeka.

Omar13 703x422

Bobo ng'ali mu 'buggy' mw'abadde atera okubuganyiza

Abavuzi ba mmotoka z’empaka 24, baakweyabya ebifuba leero (Ssande) nga battunka mu mpaka za MOSAC Autocross Championship ezigenda okubeera e Nakaseke - Kapeeka.

Empaka zino zeetabwamu abavuzi abaakayingira mu muzannyo wabula nga n’abaguluddemu oluusi bazikozesa okwetegekera ez’engule z’eggwanga ez’enjawulo.

Musaayimuto Ali Yasser Omar ‘Bobo’ ow’emyaka 16, ng’ono kafulu mu ddigi, y’omu ku bagenda okwetaba mu mpaka zino wabula nga kuluno tagenda kubeera  ku ddigi.

 obo ngalaga ebimu ku bikopo bye yaakawangula Bobo ng'alaga ebimu ku bikopo bye yaakawangula.

 

Okusinziira ku taata we, Ali Omar Snr, mutabani we agenda kuvuga emmotoka ekika kya Mitshubishi Evo 4 kuba ebbanga ly’amaze ng’avuga obumotoka bw’emitayimbwa ‘buggy’, limumala okutandika okwetaba mu mmotoka z’empaka.

“Bobo amaze ebbanga ng’avuga ‘buggy’ era nnina essuubi nti asobola okuvuganya obulungi n’abavuzi abaludde mu muzannyo kuba abamu, azze abamegga ng’avuganyiza mu ‘buggy’ ate nga bo bali mu mmotoka,” Omar Snr bwe yagambye.

 kuva ku kkono mbrose yonna li mar nr obo ne azir mar ku lunaku obo lwe yasooka okuvuga emmotoka e amwenge Okuva ku kkono; Ambrose Byonna, Ali Omar Snr, Bobo ne Wazir Omar ku lunaku Bobo lwe yasooka okuvuga emmotoka e Kamwenge.

 

Ebigambo bya Omar Snr, tebyawakanyiziddwa mutabani we bwe yagambye nti, “Ndi mwetegefu okulaga be ng’enda okuvuganya nabo era omutima omugumu sigukomya mu ddigi na ‘buggy’ wabula ne mu mmotoka mbeera nagwo.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja