TOP

Eya rugby ezzeemu essubi

By Silvano Kibuuka

Added 18th August 2019

Ttiimu y'eggwanga eya rugby, efunye ku ssuubi bw'ewangudde ey'e Zambia mu Victoria Cup

Rugbyweb 703x422

Brian Asaba (alina omupiira), Charles Uhuru ne Asuman Mugerwa nga bayita mu kisenge kya Zambia

Rugby Cranes, ttiimu y’eggwanga eya rugby, efunidde Uganda obuwanguzi obusooka ku butaka mu Victoria Cup, abawagizi n’abazannyi ne babula okufa essanyu. Mu gyasooka Kenya ne Zimbabwe zaabawangula.

Uganda yakubye Zambia ku bugoba 38-33, ku Lwokumaaga, ku kisaawe kya Kyaddondo n’etaangaaza ku mikisa gy’okutwala ekikopo kino ekiwakanirwa amawanga ana (4); Kenya, Zimbabwe, Zambia ne Uganda.

Wabula wadde guli gutyo, Uganda eri ku kibalo kya ssaala  nga kw’etadde  n’okukola ennyo okuwangula emipiira ebiri egisigadde gye bagenda okuzannyira ku bugenyi. Esigazza kukyalira Zambia ne Zimbabwe okudding’ana.

Omutendesi Robert Seguya yategeezezza nti; “Twakawangula emipiira ebiri ne Kenya ebiri, ate nga tukubiddwa ebiri. Zimbabwe abalina ekikopo bawangudde enzannya zaabwe zonna ennya. Singa ffe ne Kenya tubakubira ewaabwe ne tukuba ne Zambia mu kidding’ana olwo ttiimu zonna zijja kuba nga zeenkana, badde kw’asinze okukola obulungi”, Seguya bwe yategezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...