TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abaano b'oku nguudo banabangulwa mu bitone

Abaano b'oku nguudo banabangulwa mu bitone

By Stephen Mayamba

Added 19th August 2019

FUFA ekwataganye ne Gavumenti okuggya abaana ku nguudo okubabangula mu bitone eby'anjawulo

Streetweb 703x422

Abamu ku baana Gavumenti be yasoose okuggya ku nguudo, nga bazannya omupiira e Njeru

GAVUMENTI ekwataganye ne FUFA ng’ekozesa omupiira egiyambeko okuggya abaana ku nguudo bayambibwe okudda mu bakadde baabwe n’okufuuka abantu ab’omugaso mu ggwanga, nga  bakozesa ebitone.

Enteekateeka eno yatuumiddwa ‘Football in Community’, era Gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ekikula ky’abantu mwe yakwataganidde ne FUFA, ne batendeka abatendesi 22 abagenda okubangula  abaana abaggyibwa ku nguudo mu bifo eby’enjawulo gye bagenda okutwalibwa.

Omusomo gw’abatendesi gwamaze wiiki nnamba e Njeru ku kitebe kya FUFA ekyebyekikugu nga gwakubiriziddwa abakugu okuva mu kibiina ekiddukanya omupiira mu Bulaaya, ekya UEFA.

Ku nkomerero, y’omusomo waabaddewo  empaka z’omupiira gw’abaana 100 abaasoose okuteekebwa mu nkola eno nga bakuumirwa  Mutundwe mu munisipaali y’e Lubaga.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...