TOP

Sanchez agenda mu Inter Milan

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2019

Sanchez ye muzannyi asinga okusasulwa omusaala omusava mu Premier.

2018manusanchezwave 703x422

Alexis Sanchez ng'awuubira ku bawagizi ba ManU sizoni ewedde.

OMUTEEBI wa ManU essaawa yonna waakumaliriza eby’okwegatta ku Inter Milan ku bbanja.

Omuzannyi ono, alemeddwa okwaka mu ManU nga mu mipiira 45 gy’abazannyidde, ateebeddemu ggoolo ttaano.

Sanchez, eggulo leero asuubirwa okutonnya mu kibuga Milan okugezesebwa abasawo ba ttiimu eyo wabula yabaweereddewo obukwakkulizo nti bamuwe omujoozi nnamba musanvu.

Omuzannyi ono gwe baagula mu Arsenal mu January wa 2017, asuubirwa okufuna omusaala gwa mitwalo gya pawundi 25 mu kifo ky’emitwalo gya pawundi 55 gy’abadde afuna mu ManU.

Guno gugenda kuba mulundi gwakubiri nga Sanchez azannyira mu liigi ya Yitale nga n’ogwasooka, yali mu Udenese nga Barcelona tennamugulayo mu 2011.

Omutendesi wa Inter, Antonio Conte ayagala kuggumiza ttiimu basobole okumalawo ejjoogo lya Juventus.

Ole Gunnar Solskjaer agamba nti takyabala Sanchez mu ttiimu esooka era kwe yavudde okumuta agende.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana