TOP

Proline etutte Matia Lule

By Ismail Mulangwa

Added 19th August 2019

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.

Prowew 703x422

Lule (mu bimyuufu) ng'awa abazannyi ba Proline ebiragiro

Eyaliko omutendesi wa Express ne Cranes, Matia Lule agudde mu bintu kiraabu ya Proline FC bw’emuggye katebe n’emuwa obutendesi bwa ttiimu eno oluvannyuma lwa Shafiq Bisaso okugenda e Sweden okwongera okubangulwa.

Leero kiraabu ya Proline FC lw’eyanjudde Matia Lule mu butongole e Lugogo okwongera okusitula omutindo gwa ttiimu eno naddala nga yeetegekera okuzannya oluzannya olwokubiri mu mpaka za CAF Confederations Cup.

 ulius akkabulindi atwala emiru mu roline ku ddyo ngakwasa ule omujoozi mu kumwanjula Julius Bakkabulindi atwala emiru mu Proline (ku ddyo) ng'akwasa Lule omujoozi mu kumwanjula.

 

Wiiki ewedde, Bisaso bwe yasindikiddwa mu Eskilsmine FC ey’ekibinja ekyokuna mu liigi y’e Sweden gy’agenda okumala emyaka ebiri ng’abangulwa mu butendesi.

Matia Lule yagambye nti agenda kukola ekisoboka kyonna okulaba nga Proline agiteeka ku maapu olw’ensonga nti liigi agimanyi bulungi era ekimuwadde obuvumu be bazannyi abato.

“Mbadde sirina ttiimu yonna wabula ng’omuntu nga njagala okwekuumira ku mupiira okusinga okubeera awo nga tolina ky’okola era ng’enda kukozesa omukisa guno okulaba nga ttiiimu evuganya sizoni eno,”

 bowa ku ddyo agenda okumyuka ule ku kkono Mbowa (ku ddyo) agenda okumyuka Lule (ku kkono).

 

Baker Mbowa ne Issa Sserwanja be bagenda okumyuka Lule ku ttiimu eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.