TOP

Coutinho bamwagalizza mikisa

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

Coutinho yeegasse ku Bayern ku bbanja okuva mu Barcelona

Coutinho111 703x422

Coutinho

JURGEN Klopp, atendeka Liverpool, ayagalizza Philippe Coutinho obuwanguzi mu Bayern gye yagenze.

Liverpool ye yatunda Coutinho mu Barcelona kyokka abadde alemeddwa okwaka era ne baagala bamutunde. Mu Liverpool, gye baali baagala okumuzza wabula Klopp n’ategeeza nti talina w’agenda kumuzannyisa.

Arsenal, yali emu ku ttiimu ezaagala okumwogereza kyokka eno Coutinho yagaananyo n’ategeeza nti waakiri akatebe ka kamwokye mu Barcelona naye nga tagenze mu Arsenal.

 klopp

 

Wabula Bayerm yamuwonyezza bwe yamutwalidde ku bbanja.

Klopp agamba nti; “Coutinho twabadde tetusobola kumuzza wadde ng’ekitone akirina wabula mu Bayern gye yalaze, mmwagaliza buwanguzi.”

Ensimbi Liverpool ze yatundamu Coutinho, baazigulamu omuzibizi Virgil van Dijk ne ggoolokipa Alisson.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu