TOP

Mustafi wa Arsenal agenda

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal

Mustafi000 703x422

mustafi

ARSENAL yeetegese okutunda Shkodran Mustafi mu Roma, ng’akatale k’okutunda abazannyi mu Bungereza tekannaggalwawo. E Bungereza, okugula abazannyi kaggwa nga Premier tennaggulwawo wabula bakkirizibwa okutunda.

Agaliwo kati galaga ng’omutendesi Unai Emery bwali omwetegefu okumutunda kuba yafunye David Luiz okuva mu Chelsea.

Roma, y’esinze okumwesimbamu kuba yeetundako Kostas Manolas mu Napoli kyokka nga ne Dejan Lovren gwe baabadde baagala okugula okuva mu Liverpool, bayinza obutamufuna kuba obukadde bwa pawundi 26, Liverpool bwe yabadde emwagalamu, si beetegfu kubuwaayo.

Roma era nneetegufu, okwongera omuzannyi waayo Eden Dzeko endagaano empyaesobole okumusigaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....