TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abembogo beewaanye bwe bagenda okukuba buli ttiimu ebasala mu maaso

Abembogo beewaanye bwe bagenda okukuba buli ttiimu ebasala mu maaso

By Moses Kigongo

Added 20th August 2019

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu mupiira gw'okudingana ogwa semi finals.

Mbvsmpindi1web002web 703x422

Abembogo nga bubeefuka n'Abempindi

 ABAWAGIZI n'abakungu b’e Mbogo beewaanye nti "omunene asigala munene" oluvannyuma lw’okukuba Empindi ggoolo 3-0 mu mupiira gw'okudingana ogwa semi finals.

Bino byabadde mu mpaka z’Ebika bya Baganda mu kisaawe e Wankulukuku ku Mmande akawungeezi, bazzukulu ba Kayiira Abembogo bwe baawandude bannaabwe aba Mazige, Abempindi mu mpaka zino ekyasanyusizza abawagizi n'abakungu baayo abaakulembedwa Abbey Yawe (omu ku ba maneja bayo).

 "Tuli banene mu mipiira gy’Ebika era tugenda kukaabya buli ttiimu eneegezaako okutwanganga kubanga twagala Ngabo y'omwaka  guno”,bwatyo Yawe bwe yategeezezza nga baakamala okufuna obuwanguzi obwabatuusiza ku fayinolo y'empaka z'omulundi guno.

 Embogo kati erinze ttiimu eneeyitawo wakati w'Ekkobe n'Enkima abattunse eggulo ku Lwakubir akawungeezi.

 Wabula ng'omupiira guno tegunnazannyibwa waabaddewo okusika omuguwa wakati w’abekika ky’Embogo n'akakiiko akategesi (aka BFC) ng'abakungu b’Embogo batiisatiisa okuva mu mpaka zino ssinga akakiiko kano kagabira Empindi obubonero 3 ne ggoolo 2 olw’okulemwa okuzannya omupiira gw'oluzannya olusooka n'Empindi (gye baabadde balina okuttunka nayo ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde).

Kyokka bino  byaweddewo oluvannyuma lw'Embogo okuwuttula Empindi ggoolo 3 mu mupiira gw'okudingana eggulo akawungeezi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu