TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Camavingajpg111 703x422

Camavinga

WADDE akatale k’okugula abazannyi mu Bungereza kaggaddwaawo, tekiremesezza ttiimu za Premier kulondoola musaayimuto w’e Bufalansa.

Ono ye Eduardo Camavinga ow'emyaka 16 ng'azannyira mu Rennes, eyabbye ‘sho’ nga bawangula PSG ggoolo 2-1 mu liigi ya Bufalansa wabula yayolesezza ekitone ekyasikirizza bangi ku baamulabye.

Ku mupiira guno, Spurs Man City ne Arsenal zaasindise basajja baazo okulaba engeri musaayimuto ono gy’azannyamu.

Mu kusooka, Camavinga yazannyanya ng’omuwuwuttanyi omuzibizi wabula n’akyusibwa okuzzibwa mu muwuwuttanyi alumba era enzannya ye yeefaananyiriza ku ya Paul Pogba.

Camavinga nzaalwa y’e Angola wabula yagenda e Bufalansa nga wa myaka 6 era kati ali mu ntegeka ezifuna obutuuze bw’e Bufalansa asobole okugizanyira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...