TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba peneti

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba peneti

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu.

Rashford111 703x422

Rashford

OMUTENDESI wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer akangudde ku ddooboozi n'agoba Paul Pogba mu kukuba peneti za ManU.

Ku Mmande, ManU yagudde amaliri ne Wolves (1-1) wabula ManU yafunye peneti, Pogba n'agikuba mu ngalo za ggoolokipa wa Wolves. Kyokka mu kukuba peneti eno, waasoose kubaawo kukaayana ng'abamu baagala Marcus Rashford y'aba agikuba.

Kino kyaleetedde abamu ku baali bassita ba ManU okuvumirira omutendesi Solskjaer nti abeera atya nga talaga alina kukuba peneti za ManU mutongole.

Kino kireetedde Solskjaer okuvaayo n'alangirira mu butongole nti Rashford, y'alina okusookerwako okukuba peneti za ManU. Okuggyako nga taliimu, olwo abazannyi abalala lwe balina okuddako okwerowoozaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.