TOP

Mutebi awawudde abazannyi be

By Ismail Mulangwa

Added 21st August 2019

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka, African Stars yawangula ggoolo 3-2 e Namibia ku kisaawe kya Sam Nujoma Stadium.

Kcca1 703x422

Abazannyi ba KCCA FC nga baakamala okutendekebwa.

Abazannyi ba KCCA bavudde mu kisaawe e Lugogo nga bawejjawejja oluvannyuma lw’omutendesi Mike Mutebi okubassa ku kutendekebwa okwa kaasameeme. Enkya ku Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka, African Stars yawangula ggoolo 3-2 e Namibia ku kisaawe kya Sam Nujoma Stadium.

Ggoolo za KCCA zaatebwa Patrick Kaddu, kyokka omupiira guno tagenda kugubeeramu oluvannyuma lw'okwegatta ku kiraabu ya Berkane ey'e Morroco. Ggoolo endala, eyali eyakyeteeba, yali ya Kamberipa.

Mutebi abazannyi yabakeezezza ku kisaawe, era bangi we baakifulumidde nga bayoya busera na kutuula mu bbaafu ya bbalafu okuweweeza emibiri.

 imon serunkuma ku ddyo ngayita ku ric senjoba ku kkono Simon Sserunkuma (ku ddyo) ng'ayita ku Eric Ssenjoba ku kkono.

 

Essira yasinze kuliteeka ku bazannyi kukuba nnyanda mu ggoolo n’okunyiga omulabe, nga Allan Okello, Sulaiman Mutyaba, Herbert Achai ne Sadat Anaku, abasuubirwa okutandikira ku kyoto, be basinze okussibwako essira.

Mu ngeri y’emu, abazannyi abaakeegatta ku ttiimu eno okuli; John Revita ne Simon Sserunkuma baatendekeddwa ne bannaabwe naye Erisa Ssekisambu teyatendekeddwa.

Wabula bano bonna tebagenda kuzannya mupiira guno kuba we baabakansiza nga KCCA emaze okuweereza amannya gaabo b'egenda okukozesa mu CAF.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.