TOP

Keylor Navas agenda mu PSG

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2019

Navas yajja ku ffoomu bwe yali azannyira eggwanga lye erya Costa Rica mu World Cup ya 2014.

Navas 703x422

Keylor Navas asuubirwa okwegatta ku PSG.

OMUKWASI wa ggoolo ya Real Madrid, Keylor Navas ali ku ndeboolebo ya kwegatta ku PSG eya Bufalansa.

Kiddiridde omutendesi wa Real, Zinedine Zidane okutegeeza nti ggoolokipa nnamba emu we sizoni eno ye Thibaut Courtois, ekirese Navas ng’alina kulwanira nnamba bbiri.

Mu kiseera kino Real eri ku muyiggo gwa mukwasi wa ggoolo nnamba bbiri anaayamba ku Courtois.

Kigambibwa nti Navas yasabye Zidane amukkirize agende kuba tayinza kutuulanga ku katebe ate nga waliwo ttiimu ez’enjawulo ezimulwanira.

Ensonda mu PSG zaategeezezza nti omukwasi wa ggoolo ono yatuuka ku nzikiriziganya ne PSG sizoni ewedde kyokka obukadde bwa euro 20, Real bwe yali esaba ne bulemesa ttiimu emugula.

Ssita ono akwatira Costa Rica, awangulidde Real Madrid ebikopo bya Bulaaya bisatu kw’ossa n’ekya liigi kimu.

Arsenal, ManU nazo zaapererezaako ku mukwasi wa ggoolo ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira