TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Owa Everton alabudde abazannyi abatamanyi Lungereza

Owa Everton alabudde abazannyi abatamanyi Lungereza

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2019

Everton eyambalagana ne Aston Villa leero nga bw'ewangula yaakulinnya ku ntikko ya Premier.

Everton 703x422

Richarlison omuteebi wa Everton.

OMUTENDESI wa Everton, Marco Silva agambye bassita be babiri, Richarlison ne Yerry Mina okwongera okuyiga Olungereza oba si ekyo waakubasuula ku ttiimu etandika.

Silva, agamba nti ayagala ye abazannyi bonna babeere nga bawuliziganya bulungi era engeri yokka kino gye bakisobola ya kuyiga Lungereza.

Mina, enzaalwa ya Colombia n’Omubrazil Richarlison olulimi tebalutegeera nga bannaabwe ky’agamba nti kikaluubiriza bw’aba abawa ebiragiro.

 erry ina omuzibizi wa verton Yerry Mina omuzibizi wa Everton.

 

Everton, yaakuzannya Aston Villa mu kiro kya leero era balina omukisa okulinnya ku ntikko nga bwe balina ebinaava mu nsiike ya Liverpool ne Arsenal.

Abazannyi abatali Bangereza bwe bajja mu Premier bafuna ababasomesa Olulimi kibasobozese okukwatagana ne bannaabwe be basanzeewo wabula Silva agamba nti kino abazannyi bano bombi, bakikozeeko kasoobo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...