TOP
  • Home
  • Rally
  • Abazadde basibidde aba ddigi entanda

Abazadde basibidde aba ddigi entanda

By Ismail Mulangwa

Added 28th August 2019

Abaana bazze bavuganya mu mpaka z'eggwanga era tubalinamu essuubi okudda n'obuwanguzi.

Bazadde 703x422

Okuva ku kkono ye Miguel Katende,Shamirah Kalema,Lionel Ntale,Prossy Mbabazi ne Ashraf Mbabazi ku ddyo

ABAZADDE b’abavuzi ba ddigi, bakutidde abaana baabwe okulwana bawese eggwanga ekitiibwa nga batuuse mu mpaka za Afrika eza ‘FIM Motorcross Championship’ ezigenda okubeera e Zimbabwe.

Maama w’omu ku bavuzi bano, Shamirah Kalema yagambye nti abaana baludde nga batendekebwa era musuubiramu ebintu bingi ng’okukomawo n’obuwanguzi mu mpaka zino.

Ekifudde abaana bano eky’enjawulo z’empaka za wano eza ‘Mountain Dew Motorcross Championship’ kwe bavuganyiza ku ngule z’eggwanga ez’enjawulo kuba zirimu okuvuganya kwa maanyi.

“Buli mwana agenda okwetaba mu mpaka zino mulinamu essuubi okutufunira obuwanguzi era mbasaba baleme kutuyiwa kuba tubalinamu essuubi ddene. Balina obutaddiriza kiwuubiro kya ddigi okutuusa nga batuuse ku kaguwa,” Kalema bwe yagambye.

Empaka zino zaakutandika ku Lwokutaano nga August 30 zikomekerezebwe nga September 1.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja