TOP
  • Home
  • Rally
  • Stav Orland ayagala kweddiza ngule.

Stav Orland ayagala kweddiza ngule.

By Ismail Mulangwa

Added 28th August 2019

"Wennakoma omwaka oguwedde we njagala okutandikira ne guno mu mpaka za Afrika."

Stavnew 703x422

Stav ng'atadde ddigi mu bbanga.

NNANTAMEGGWA wa Afrika Stav Orland mu mpaka za ‘FIM Motorcross Championship’ omwaka oguwedde alaliise okuddamu okukaabye bavuzi banne nga yeddiza engule mu mpaka ezigenda okubeera mu kibuga Harare ekya Zimbabwe.

Stav avugira mutendera ogwokuna (MX85cc) asuubizza eggwanga okukomawo n’obuwanguzi, oluvannyuma lw’okufuna okutendekebwa okw’amaanyi mu nsi z’ebweru.

 tav ali ku ttiimu ya ganda eri e imbabwe Stav ali ku ttiimu ya Uganda eri e Zimbabwe.

 

“Bukya mwaka guno gutandika, mbadde nnetegekera empaka zino kuba zanjawulo ate z’amaanyi nnyo gyendi. Ngenda kukola ekisoboka okulaba nga nzeddiza mpe n’abawagizi bange essanyu,” Stav Bwe yagambye.

Yayongeddeko nti Abazimbabwe kumuwa nnyo buzibu. “Bangi nvuzeeko nabo omwaka guno era mbamanyi endya n’ensula mu bya ddigi wabula omuntu gwensuubira okumpa obuzibu ye Jonathan Mulimi enzaalwa y’e South Afrika kuba mulungi ate nga mbadde ntendekebwa naye e Califonia.”

Empaka zino zaakutandika ku Lwokutaano nga August 30 zikomekerezebwe nga September 1.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...