TOP
  • Home
  • Rally
  • Uganda eraze talanta ng'ekwata ekyokusatu mu za ddigi

Uganda eraze talanta ng'ekwata ekyokusatu mu za ddigi

By Ismail Mulangwa

Added 2nd September 2019

Gift Sebuguzi, Asraf Mbabazi, Pascal Kasozi, Kreidah Nsubuga, Miguel Katende, Jonathan Katende, Liam Ntale, Stav Orland, Fortune Sentamu ne Waleed Omar be bamu ku bavudde mu mpaka za Afrika nga batenderezebwa olw’omutindo gwe baalaze.

Alon2 703x422

Ttiimu y'abavuzi abakikiridde Uganda.

TTIIMU ya Uganda eya ddigi yalaze kyerinawo bwe yamalidde mu kyokusatu mu mpaka za Afrika eza ‘FIM Motorcross Championship’ ezaabadde e Harare, Zimbabwe.

Empaka zino zaamaze ennaku ssatu nga Uganda yakiikiriddwa ttiimu y’abavuzi 37 okuva mu mitendera egy’enjawulo.

 lon ngali ku ddigi Alon ng'ali ku ddigi.

 

Musaayimuto Alon Orland yayolesezza omutindo ogw’enjawulo bwe yasitukidde mu ngule ya 2019 ku mutendera ogwokutaano (MX65cc) mwe yameggedde abavuzi okuva e South Afrika.

 lon nekikopo kye yawangudde Alon n'ekikopo kye yawangudde.

 

Abavuzi abalala okw’abaddeko; Gift Sebuguzi, Asraf Mbabazi, Pascal Kasozi, Kreidah Nsubuga, Miguel Katende, Jonathan Katende, Liam Ntale, Stav Orland, Fortune Sentamu ne Waleed Omar be bamu ku bavudde mu mpaka zino nga batenderezebwa olw’omutindo gwe baalaze.

Guno mwaka gwakubiri nga Uganda ekwata ekyokusatu mu kuvuga ddigi mu Afrika. South Afrika ye yakulembedde Zimbabwe n’emalira mu kyokubiri. Mu mawanga amalala kw’abadeko; Kenya, Morocco, Botswana ne Zambia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...

Kawesi 220x290

Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde...

Bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.