TOP

Messi bamukkirizza

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2019

Endagaano Messi gy'alina ne Barcelona, eggwaako mu 2021 era ajja kuba wa ddembe okuva mu ttiimu eno, bw'anaaba ayagadde.

Messi 703x422

messi

LIONEL Messi, waakukkirizibwa okuva mu Barcelona ku bwereere singa endagaano ye eneeba eweddeko ng'ate naye ng'omuzannyi tayagala kugizza buggya.

Messi, 32, enzaalwa y'e Argentina, omupiira gwe ogwa pulofeesono yaakaguzannyira Barcelona yokka era okuva mu 2004 lwe yasuumuusibwa okuggya mu ttiimu enkulu, azzizza endagaano ye emirundi 8. Mu 2017, lw'akyasembyeyo okugizza obuggya, bassaamu akawaayiro akamukkiriza okwabulira Barcelona ng'endagaano ye eweddeko singa anaaba si mwetegefu kugizza buggya.

Okusinziira ku mawulire agaafulumidde mu lupapula lw'amawulire olwa El Pais e Spain, Messi eyaakawangula Ballon d'Or emirundi 5, endagaano gy'alina kati eggwaako mu 2021 era yandiva mu Barcelona nga taguliddwa nsimbi yonna wadde ng'era bayinza okutuuka ku nzikkiriziganya ne bakama be ne bamwongera endala.

Abaaliko bassita ba Barcelona abalala okuli; Carles Puyol, Xavi ne Andres Iniesta nabo baabeerako n'akawaayiro ke kamu era ababiri ku bo (Xavi ne Andres Iniesta) baakomekkereza bagenze mu Qatar ne Japan.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.

Rally 220x290

Laba ebbinu eribeera mu mmotoka...

ONOONYA ssanyu lya ku nsi, olina situleesi oba onoonya wa kuliira bulamu.Alina mmotoka gikube ekisumuluzo, owa...

Thumbnailrevmwesigwabyjmutebi5 220x290

Rev. Mwesigwa ebintu bimukyukidde:...

REV. Isaac Mwesigwa poliisi bwe yamukwasa aba famire ye, yalowooza nti ebintu biwedde kyokka ebigambo byamukalidde...

Mze 220x290

Owapoliisi atuuyanye mu gwa Kanyamunyu...

OMULAMUZI Steven Mubiru akiguddeko oluvannyuma lw’omuserikale wa poliisi eyabadde azze okulumiriza Mathew Kanyamunyu...

Bobi 220x290

Mayinja ensi ekulaba - Bobi

Bobi yasabiddwa okwongera okuttaanya ku njawukana eziriwo wakati w'abakulembeze ba People Power ne Ronald Mayinja...