TOP

Eto'o awummudde okuzannya omupiira

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2019

Eto'o, eyaliko ssita wa Cameroon mu kucanga akapiira, annyukidde ku myaka 38.

Eto1 703x422

Eto'o

SAMUEL Eto'o, annyuse okuzannya omupiira oluvannyuma lw'emyaka 22 ng'ali mu mupiira. Annyukidde ku myaka 38 era ng'asembyeyo kuzannyira Qatar SC ey'e Qatar.

Y'omu ku bateebi abaali ab'omutawaana ku mirembe gye era nga ye Mufrika eyasooka okulya engule y'obuzannyi bwa Afrika emirundi 4 (2003, 2004, 2005 ne 2010), Yaya Toure bwe yali tannakikola mu 2014.

Azannyidde ttiimu ez'enjawulo okuli; Barcelona, Inter Milan,        Anzhi Makhachkala, Chelsea, Everton n'endala. Ttiimu y'eggwanga eya Cameroon yatandika okugizannyira nga wa myaka 16 era agenze okunnyuka ng'awangudde ku mpaka za Afrika emirundi ebiri (2000, 2002).

Ye muzannyi akyasinze okuteeba ggoolo ennyingi mu kikopo kya Afrika (18) era ye muzannyi akyasinze okuteebera Cameroon ggoolo ennyingi (56).

Awangudde ebikopo eby'enjawulo mu ttiimu ez'enjawulo z'azze azannyira okuli; ebya La Liga 4 ne Barcelona, ekya Serie A ne Inter Milan ne Champions League. Alina n'omudaali gwa zaabu ogwa Olympics gwe yawangula ne Cameroon mu 2000.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailkabongengomupiiraagulabiraeberuwekisaawe 220x290

Omutendesi Kabonge awanduse mu...

OMUTENDESI wa Katwe United FC mu Big League Allan Kabonge yeekandazze n’ava ku kisaawe ng’ayomba oluvannyuma lwa...

Thumbnailabazannyibacityoilersngabafaessanyulyekikopoekyomusanvu2 220x290

Aba City Oilers 2 batambulira...

ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo...

Genda 220x290

Abadiventi beebugira lukung'aana...

Ensi 13 ze zisuubirwa okwetaba mu lukungaana lw'aba Advent olutuumiddwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival...

Sit16 220x290

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza...

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza okuddayo okusoma

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...