TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Buddu ewera kumegga Busiro eddeyo e Namboole

Buddu ewera kumegga Busiro eddeyo e Namboole

By Ssennabulya Baagalayina

Added 12th September 2019

Ttiimu ya Buddu erabudde eya Busiro okugenda e Masaka nga bakimanyi nti baawanguddwa dda mu mpaka z'Amasaza ga Buganda.

Budduweb 703x422

Ssentebe wa Buddu FC, Hajji Ali Matovu, ng'alamusa ku bazannyi

Ssande mu semi y’Amasaza

Buddu- Busiro

Kyaddondo - Bulemeezi  

Nga wabula mbale bazannye semi y’empaka z’Amasaza, Bannabuddu baatandise dda okwepika n’okuwera nga bwe bagenda okumegga Busiro, baddeyo e Namboole gy’ebajja okusitukira mu kikopo kino banaaze ku bawagizi ennaku y’omwaka oguwedde.

Ku fayinolo y’omwaka oguwedde, Buddu yawangulwa Ssingo ggoolo 11-10 eza peneti, oluvannyuma lw’eddakiika 90 okuggwaako nga buli ludda lulina ggoolo emu.

Buddu y'esoose okukyaza Busiro ku Ssande ku kisaawe kya Masaka Recreation Grounds mu luzannya olusooka,  era egemba nti erina okuluwangula esobole okuzannya ogw’okudding’ana nga teri ku puleesa.

Ssentebe w'olukiiko oluddukanya Buddu FC, Hajji Ali Matovu, yategeezezza nti abazannyi batendekeddwa ekimala era bonna bali mu mbeera nnungi, sso nga ttiimu ezannye n’emipiira egyokwegera  okubayamba okwekuumira ku mutindo.

Mu semi endala, Kyaddondo ekyaza Bulemeezi e Mwereerwe, nga buli emu ewera kumegga ginaayo okutaangaaza emikisa gy’okwesogga fayinolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...