TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Abasituzi b'obuzito beepikira gya Olympics

Abasituzi b'obuzito beepikira gya Olympics

By Silvano Kibuuka

Added 12th September 2019

Bamusaayimuto abasituzi b'obuzito batadde Uganda ku maapu bwe bawangudde emidaali gya zaabu mukaaga

Weightlifting11web 703x422

Davis Niyoyita ng'asitudde ekyumu. Yawangudde emidaali gwa zaabu mukaaga

Bamusaayimuto abasituzi b’obuzito baawaniridde  bendera ya Uganda mu mpaka za Afrika ezimaze ennaku ssatu nga zibumbujjira ku wooteri ya  Imperial Royale. Baawangudde ku mutendera gwa Youths (abali wansi w’emyaka 21) ate ne bakwata kyakubiri mu Juniors (wansi w’emyaka 18).

Mu Youths baafunye obubonero 303 nga baddiriddwa Mauritius (168) ne South Africa mu kyokusatu ku 150. Mu Juniors baafunye 357, ate  Algeria n’ewangulira ku 484.

Uganda yawangudde  emidaali gya zaabu mukaaga, feeza 9, n’ekikomo 12 egyabaweesezza ebifo bino mu mpaka ezeetabiddwamu abazannyi 56 okuva mu mawanga 12.

 

Pulezidenti w’ekibiina ekivunaanyizibwa ku kibiina kino ekya Uganda Weightlifting Federation (UWF) Salim Musoke, yagambye nti empaka yazitaddemu basajja bokka olw’ebbula ly’ensimbi.

“Tusubiddwa abazannyi abawereko mu balenzi ate n’abawala tebeetabiddeemu ddala lwa butaba na paasipoota wabula obuwanguzi bujja kutusobozesa okuvuganya okugenda mu Olympics e Japan 2020, naddala singa twetaba mu mpaka endala”, Musoke bwe yagambye.

Omuzannyi Davis Niyoyita owa kiraabu ya Kisugu Unified ye yasinze okuyitimusa Uganda bwe yawangudde zaabu mukaaga mu Junior ne Youths.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono