TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Abebikonde basimidwa okukola obulungi mu gya Afrika

Abebikonde basimidwa okukola obulungi mu gya Afrika

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2019

Abaddukanya ebikonde basabya Gavumenti okubeera n'obwenkanya ng'esiima bannabyamizannyo

TTIIMU y’eggwanga eyeebikonde ‘The Bombers’, esiimiddwa olw’okukola obulungi mu mizannyo gya Afrika egyabadde mu kibuga Rabat ekya Morocco, wakati wa August 19-31.

Ku midaali 10 Uganda gye yawangudde, abeebikonde baawanguddeko 3, okwabadde egya feeza egyaleeteddwa Isaac Masembe ne David Kavuma Ssemujju, n’ogwekikomo ogwawanguddwa Hellen Baleke.

Ku kabaga akategekeddwa okusiimirako abazannyi b’ebikonde ku Kati Kati ku Lwokusatu, Moses Muhangi, pulezidenti w’ekibiina ky’ebikonde ekya UBF, kwe yasiinzidde okusaba Gavumenti  okuba n’obwenkanya mu mizannyo gyonna egiba gikoze obulungi.

“Ebikonde byakoze kinene okuyamba Uganda okumalira mu kifo ekya 26 ku nsi 53, era abazannyi basaana okusiimibwa okusukka ku mmere ebaweereddwa ,” Muhangi bwe yagambye.

Muhangi era yawadde Masembe, Ssemujju ne Baleke 1,000,000/- buli omu, ng’akasiimo olw’okuwangula emidaali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...