TOP

Mbarara City etuuyanyizza Vipers e Kitende

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

SIZONI ewedde, Vipers yagitandika na maanyi. Yawangula emipiira ena egyasooka, n’etiisa bwe baali bavuganya nti yandiwangula ekikopo.

6989167024290732638466058559729169338990592o 703x422

Egyazannyiddwa mu liigi

Vipers 2-2 Mbarara City

Busoga 0-1 Onduparaka

Maroons 3-2 Bright Stars

Wakiso Giants 0-1 BUL

Yakuba Ndejje ne Nyamityobora ggoolo 1-0 buli emu, Maroons 2-1 ne Villa 3-1.

Omutindo guno gwawa abawagizi essuubi nti ekikopo basobola okukiwangula, kyokka gye byaggweera nga bali mu kyakubiri.

Sizoni eno, baaguze abazannyi abalungi okuli; Fahad Bayo, Muhammad Shaban, Paul Willa, Rashid Toha, Denis Mwemezi, Allan Kayiwa, Siraje Sentamu n’abalala, kyokka Mbarara City, abadde yaakawangula omupiira ogumu mu ena, n’ebasuula amaliri (2-2) e Kitende.

Vipers yayingidde ensiike eno nga yaakawangula Bright Stars (3-1) ssaako Tooro United ne BUL (1-0) buli emu, sso nga Mbarara yabadde yaakawangula Proline (3-1), okukubwa Villa 3-1, Express 3-2), n’okulemagana ne Police (0-0).

Fahad Bayo ye yateebye ggoolo za Vipers ate Ibrahim Orit ne Hilary Mukundane ne bateebera Mbarara.

Vipers bw’eba yaakugenda wala sizoni eno, erina okutereeza ekisinge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...