TOP

Sipiika Kadaga asuubizza abeebikonde

By Musasi wa Bukedde

Added 24th September 2019

Sipiika Rebecca Kadaga asuubizzaokukwasiza ku beebikonde, n'okulaba nga bafuna ensimbi ezimala okuva mu Gavumenti

Boxingweb 703x422

Sipiika Rebecca Kadaga (ku kkono) ne Moses Muhangi owa UBF

BYA FRED KISEKKA

SIPIIKA wa palamenti, Rebecca Kadaga, asuubizza okukwatizaako abeebikonde ku nsonga ezibaluma.

Yabadde asisinkanye Moses Muhangi, pulezidenti w’ekibiina kya UBF,  ekiddukanya ebikonde mu ggwanga,eyamukyaliddeko mu ofiisi ye mu Kampala.

Kigambibwa nti akafubo kano, akatakkiriziddwaamu baamawulire,  kaaluubiridde kutema mpenda ku ngeri ebikonde gye bigenda okuyambibwamu kubanga bimaze ebbanga nga tebifibwaako kimala.

“Ndi musanyufu olwa sipiika okukkiriza okunsinsikana kuba mbadde mmaze ebbanga ddene nga mmuwandiikira. Yatusuubizza okusakira ebikonde mu Gavumenti nga bwazze akola ku ttiimu y’eggwanga ey’okubaka ne mu mizannyo emirala” Muhangi bwe yategeezezza oluvannyuma.

Muhangi yagasseeko nti Kadaga era yasuubuizza okutunula mu nsonga y'okuba nti ebikonde tebiweebwa nsimbi zimala okuva mu Gavumenti. 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Arteta 220x290

Tetujja kulemesa Arteta kwegatta...

Arsenal eri ku muyiggo gwa mutendesi muggya anaasikira Unai Emery eyagobwa ku nkomerero ya November.

Cecafadec152019cranesbtdjibouti41okello19571 220x290

Uganda Cranes erinze Tanzania ku...

Uganda eyagala kuwangula kikopo kya CECAFA eky'omulundi ogw'e 15.

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.