TOP

Kiwalabye awera

By Musasi wa Bukedde

Added 24th September 2019

Kiwalabye ayagala kuwangula musipi gwa 'UBO Africa Bantam weight title’asobole okwatagana n'abalwanira ogw'ensi yonna.

Kiwalabye2 703x422

Frank Kiwalabye ow'okubiri ku ddyo ne Kasita Muwonge wakati omutegesi w'olulwana luno mu kulutongoza ku Landmark Hotel e Makindye wakati ye Abbey Mugayi omumyuuka wa pulezidenti wa UPBC ekibiina ekidukannya ebikonde byabazannya ebyensimbi mu ggwanga.

Bya FRED KISEKKA

Munnayuganda omuggunzi w’eng’uumi Frank Kiwalabye alaalise okukubira Omutanzania Fadhili Chamile mu miguwa bwe banaaba balwanira omusipi gwa ‘UBO Africa Bantam weight title’ nga November 30 omwaka guno.

Olulwana luno lwakubeera ku kizimbe kya Muganzirwaza e Katwe nga laawundi 12 ze zigenda okuzannyibwa.

Kiwalabye yategezezza nga bw’atagenda kuwa Mutanzania mukisa kuba ayagala kuwangula musipi guno kimuyambe okuvugannya ku gw’ensi yonna.

“Guno ngulaba ng’omukisa ogugenda okuntuusa ku kirooto kyange eky’okuberako kyampiyoni w’ensi yonna era nkakasa Bannayuganda nti Omutanzania ono ng’enda kumubawa nga kirabo” Kiwalabye bwe yagambye.

Olulwana luno lwatongozeddwa ku Landmark Hotel e Makindye nga lutegekeddwa aba ‘Kasta International Boxing Promotions’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi