TOP

Kiggundu yeweredde Van Pee

By Ismail Mulangwa

Added 25th September 2019

Kiggundu y’omu ku bavuzi abavuganya Maxime Van Pee ku ngule y’omwaka guno ku mutendera ogw’abakafulu (MX1), yamulabudde okumumegera e Garuga.

Fatu1 703x422

Fatuh ng'ali ku ddigi. Mu katono nga bw'afanaana.

NG’ABAVUZI ba ddigi bakamala okuttunka mu mpaka za Afrika eza ‘FIM Motrocross Championship’ e Zimbabwe omwezi oguwedde, obukodyo baakubuzza mu mpaka za laawundi eyoomukaaga ezigenda okubeerayo wiikendi eno nga balwanira obubonero ku ngule z’eggwanga ezenjawulo.

Empaka za kutojjerera Garuga ku Ssande era buli muvuzi ali bulindaala nga okulaga banne kyalinawo kw’olwo. Kw’olwo, waakubeerawo n’abavuzi ba mmotoka z’empaka nga bob agenda kuvuga n’ekigendererwa ky’okusondera ambyulensi y’ekibiina ekitwala emizannyo gyombi ekya FMU.

an ee ngali ku ddigi u katono nga bwafanaanaVan Pee ng'ali ku ddigi. Mu katono nga bw'afanaana.

 

Abavuzi okuli; Maxime Van Pee ne Fatuh Kiggundu bakwegera eryaanyi kuba buli omu agaya. Kiggundu teyamatira mu laawundi eyookuna bwe baali e Garuga.

Kiggundu y’omu ku bavuzi abavuganya Maxime Van Pee ku ngule y’omwaka guno ku mutendera ogw’abakafulu (MX1), ng’era mu kaseera kano ali mu mbeera nnungi essuuza Van Pee obuwanguzi e Garuga.

Wadde ng’omwaka guno tegunnamutambulira bulungi asuubizza abawagizi nga bw’agenda okuliisa Van Pee enfuufu. Empaka zaakulagibwa layivu ku Urban TV,eri wansi wa Vision Group efulumya ne Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Museveni tayagala kuggya musolo...

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti tawagira kya gavumenti okubinika amasomero n’amatendekero ag’ebyenjigiriza...

Ssentebesserwangaomubakawantenjerusouthfredbasekerdcmwanamoizanabakunguabalalangabatemaevvuunikeawagendaokuzimbibwaessomerowebuse 220x290

Gavumenti yaakuzimbira ab'e Kayunga...

Ab'e Kayunga bagenda kuzimbirwa essomero lya siniya lya bbiriyooni bbiri nga n'evvuunike lyaggwa okutemebwa

Abantungabalingizamuddirisaokulabaomulambogwakantonoekifsaulwokulira 220x290

Asse mukazi we naye ye yeetuga...

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amutta n'amulesa ebbujje ery'emyezi musanvu

Kiteb13webusemubuulo 220x290

Abatundira ku nguudo baweereddwa...

Abasuubuzi abakolera mu katale ak'omu buulo n'ababadde bakolera ku kkubo mu bitundu by'e Kabowa - Wankulukuku –...

Olukiiko lwa Bobi Wine luli mu...

POLIISI eyiye abaserikale baayo mu Ndeeba okuziyiza olukiiko lwa Bobi Wine lw’ategeseeyo olwaleero; okwebuuza ku...