TOP

Ssebute alinze Omutanzania mu miguwa

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2019

Ssebute ne Swedi bakwambalagana enkya (Lwakutaano) mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo nga balwanira omusipi gwa ‘East and Central Africa Super Fly Weight Title’.

Ssebute1 703x422

Ssebute (ku kkono), Maureen Mulangira Ssabawandiisi wa UPBC n'Omutanzania Muhamed Swedi (ku ddyo).

Bya FRED KISEKKA

Esigadde essaawa mbale olulwana wakati wa Munnayuganda Abdul Ssebute n’Omutanzania Muhamed Swedi lugibweeko akawuuwo.

Ssebute ne Swedi bakwambalagana enkya (Lwakutaano) mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo nga balwanira omusipi gwa ‘East and Central Africa Super Fly Weight Title’.

Ababiri bano bapimiddwa leero ku Taggy Hotel mu Kampala ng’eno Omutanzania Swedi gy’asinzidde n’awera nga bw’atazze mu Uganda kutuusa mukolo era agenda okuwutula Ssebute yejjuse n’ekyamuleeta mu bikonde.

 gimu ku misipi egiegenda okulwanirwa ekya e ugogo Egimu ku misipi egiegenda okulwanirwa ekya e Lugogo.

 

Mu kupima Ssebute yabadde azitowa kiro 52.5 ate Swedi (58) era wano yawaliriziddwa okukola okusala ku buzito buno wakiri kiro satu.

Ku lulwana luno, kwa kubeerako enwaana endala eziggya abantu ekifu ku maaso. Musa Ntege agenda okuttunka n’Omutanzania Paul Kimatha nga balwanirwa omusipi gwa ‘East Africa Cruiser weight title’ ate John Sserunjogi attunke ne Moses Waisswa ku musipi gw’eggwanga mu buzito bwa ‘Middle’ n’enwana endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa