TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Cheptegei akulembeddemu abayiggira Uganda emidaali

Cheptegei akulembeddemu abayiggira Uganda emidaali

By Musasi wa Bukedde

Added 27th September 2019

Uganda yasindise abaddusi 22 mu mpaka z'ensi yonna ez'emisinde e Qatar okuginoonyeza emidaali.

Cheptegeigold5 703x422

Cheptegei

Joshua Cheptegei, y’akulembedde abaddusi ba Uganda, abaagenze e Doha okuyigga emidaali mu misinde gy’ensi yonna. Empaka zino eza IAAF World Championship egiri mu kibuga Doha ekya Qatar, giggulwawo leero mu butongole nga Uganda yakiikiriddwa abaddusi 22.

Chepetegei, ajjukirwa okuwangula feeza mu mpaka ze zimu eza 2017 ezaali e London ate mu misinde gya Commonwealth, yawangula egya zaabu mu mita 10,000 ne 5,000. Mu ngeri y’emu, Cheptegei yafuuse Munnayuganda asoose okuwangula empaka za Diamond League ezaabadde e Zurich mu Switzerland omwezi oguwedde.

Leero ku Lwokutaano, abaddusi okuli Winnie Nannyondo ne Halima Nakayi bali mu nsiike mu mmita 800 ez’okusunsulamu abaneesogga semi ey’okuddukibwa enkya ku Lwomukaaga. Nakayi, y’omu ku baddusi abaawangudde omudaali mu mizannyo gya Afrika egyabadde e Morocco era yeesunga kwesigama ku buwanguzi obwo, aleebye banne bwe battunka leero.

akayi adduka mmita 800Nakayi, adduka mmita 800

 

Mu mpaka za World Championship eza 2013, Stephen Kiprotich yawangula zaabu mu marathon nga ne ku luno, azzeeyo akolerere zaabu.

Enkya ku Lwamukaaga, Stella Chesang, Rachael Chebet ne Juliet Chekwel be bali mu nsiike mu mita 10,000. Mu mizannyo gya Commonwealth egya 2018, Chesang yawangula zaabu era yeesigamye ku buwanguzi buno, okuwangula omudaali omulala.

Empaka zino, zaakwetabamu abaddusi 3500 okuva mu nsi 205 nga zitandise leero ku Lwokutaano zikommekerezebwe nga October 10 omwaka guno.

Abaddusi abaakiikiridde Uganda

Abasajja:

Ronald Musagala (1500m),

Oscar Chelimo ne Stephen Kissa (5000m)

Joshua Cheptegei, Jacob Kiplimo ne Abdallah Kibet Mande (10,000m)

Stephen Kiprotich, Fred Musobo ne Solomon Mutai (marathon)

Albert Chemutai, Benjamin Kiplagat, Boniface Sikowo (3000 eza Steeplechase)

Abakazi:

Leni Shida (400m:)

Nakaayi, Nanyondo (800m)

Esther Chebet, Nanyondo (1500)

Sarah Chelangat (5000m)

Rachael Zena Chebet, Juliet Chekwel, Stella Chesang (10,000)

Linet Toroitich Chebet (marathon)

Peruth Chemutai (3000 eza Steeplechase)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Poliisi ekutte omukyala abadde...

Poliisi ekutte omukyala abadde atunda omwana we afune entambula emuzza ewaabwe!

Riot24 220x290

Okwekalakaasa e Makerere, akulira...

Ttiyagaasi anyoose e Makerere, akulira abayizi akwatiddwa, abayizi bazirise.

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...