TOP

ManU erina essuubi mu Pochettino

By Musasi wa Bukedde

Added 27th September 2019

ManU ekola bubi ensangi zino ng'abamu bagamba nti ekizibu kiri ku mutendesi Solskjaer gwe balumiriza obutaba na bukodyo.

Pochettino 703x422

Pochettino

MAN United teggweebwako kuyiiya, bw’etandise okutunuulira omutendesi wa Spurs, Mauricio Pochettino singa eneeba egobye Gunnar Solskjaer, ebintu gwe bikyalemye.

Nga ManU yaakagoba Jose Mourinho, yasooka kwagala kukansa Pochettino kyokka n’emwekuba kwe kuleeta Solskjaer.

Sizoni eno, ManU buli omu agisekerera olwa ffoomu embi gy’erina nga mu mopiira esatu egisembyeyo evuyizza n’ekatagga nga ne mu League Cup, kyagyetaagisizza kugenda mu peneti, okuggyako Rochdale.

mutendesi olskjaerOmutendesi Solskjaer

 

Abamu ku bakungu baagala omutendesi agobwe kyokka abalala bagamba nti abalamu abazannyi, nga mu katale ka January, bandiguzeeyo abalala ttiimu n’eggumira kuba na kati, tebannafuna asikira Romelu Lukaku eyagenda.

Wabula waliwo abagamba nti ekizibu kiri ku mutendesi era nga waliwo abaagala baleete Pochettino. Mu Spurs gyali, ne Pochettino tannakola bulungi nga mu Premier eri mu kifo kyamusanvu nga Liverpool ekulembedde, egisinza obubonero 10.

Naye alinga eyetamiddwa embeera kyokka bakama be baakamwongera endagaano. Kiteeberezebwa nti singa ManU emukansa, erina okuliyirira Spurs obukadde bwa pawundi 32.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...