TOP

Aba ddigi battunka leero

By Musasi wa Bukedde

Added 29th September 2019

LEERO (Ssande), abavuzi ba ddigi bagenda kuttunka mu mpaka za laawundi eyoomukaaga ku kalenda eza 'Mouutain Dew Moto- Cross Championship' e Garuga. Oluvannyuma wiikendi ejja bagenda Busiika gye bagenda okuttunkira mu z'amagye eza ' Armed Forces Appreciation Motocross'. Obuwanguzi bw'omuvuzi businziira ku bintu bingi eby'enjawulo okuviira ddala ku kwetegeka okutuuka ku ttalanta.

Unity 703x422

NICHOLAS KALYANGO akulaze abavuzi abasinze okwefuga omuzannyo guno n'enkizo ezibamezza bannaabwe.

AMAANYI GA DDIGI

Abavuzi abasinga amaanyi ga ddigi kwe basinziira okuliisa bannaabwe akakanja.

Bwetwali tugenda mu mpaka za Afrika ezaali mu Zimbabwe mu August, abavuzi abamu baayingizaawo ddiigi empya ate nga za myaka egiriko.

Milton Akaki, Obote Akena, Ramathan Mubiru, Jonathan Muhindo, Stav, Aviv ne Alon Orland bonna baayingizaawo ddiigi za mwaka 2020.

Abamu bali ku kika kya KTM abalala Husqvarna. Ddigi nga zino okuggyaako ng'efudde, omuntu ali ku Yamaha oba Honda enkadde, talina waamusangira.

Bonna abalina ddigi 'eziriko', beeriisa nkuuli nga bali mu mpaka ez'enjawulo. okwetege ka Tewali asinga famire ya ba Orland kwetegeka. Ddigi kwe batendekebwa si ze bavuganyizaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Museveni tayagala kuggya musolo...

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti tawagira kya gavumenti okubinika amasomero n’amatendekero ag’ebyenjigiriza...

Ssentebesserwangaomubakawantenjerusouthfredbasekerdcmwanamoizanabakunguabalalangabatemaevvuunikeawagendaokuzimbibwaessomerowebuse 220x290

Gavumenti yaakuzimbira ab'e Kayunga...

Ab'e Kayunga bagenda kuzimbirwa essomero lya siniya lya bbiriyooni bbiri nga n'evvuunike lyaggwa okutemebwa

Abantungabalingizamuddirisaokulabaomulambogwakantonoekifsaulwokulira 220x290

Asse mukazi we naye ye yeetuga...

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amutta n'amulesa ebbujje ery'emyezi musanvu

Kiteb13webusemubuulo 220x290

Abatundira ku nguudo baweereddwa...

Abasuubuzi abakolera mu katale ak'omu buulo n'ababadde bakolera ku kkubo mu bitundu by'e Kabowa - Wankulukuku –...

Olukiiko lwa Bobi Wine luli mu...

POLIISI eyiye abaserikale baayo mu Ndeeba okuziyiza olukiiko lwa Bobi Wine lw’ategeseeyo olwaleero; okwebuuza ku...