TOP

Ebula ssaawa Arsenal ne Man United okweriga

By Musasi wa Bukedde

Added 30th September 2019

LEERO (Mmande), Arsenal ekyalidde ManU mu Premier ng'ekigiri ku mwoyo kwe kukomya ejjoogo lyayo.

Arsenalvsunitedkeybattlegroundsfeatured940530 703x422

Mu mipiira 12 ttiimu zino gye zisisinkanidde ku Old Trafford, ManU tewanguddwaamu. Ekoze amaliri ga mirundi 4, n'okuwangula 8.

Arsenal essanyu yasemba kulifuna mu 2006 bwe yawangula ggoolo 1-0 eyateebwa Emmanuel Adebayor.

Unai Emery, atendeka Arsenal, yagambye nti embiranyi eri wakati wa ttiimu zombi agimanyi bulungi, era agenda kufuba okulaba ng'afunira ttiimu ye obuwanguzi.

Ttiimu zino zaabisanyiza ekikopo kya Premier okumala emyaka 10, nga Chelsea, Liverpool, Man City ne Tottenham tezinnaziyingiramu.

Wadde mu kiseera kino ManU ne Arsenal kye zisinga okulwanirira kya kumalira mu bana abasooka, Emery yagambye nti akimanyi ng'omupiira guno wonna we gutuukira buli ludda lubeera lugwesunze nga mbaga. " Ttiimu zino wonna we zisisinkanira bubeera bunkenke.

Nnalabanga ensiike zaabwe nga nkyali mu Spain era kyalinga kya muwendo nnyo.

Nkimanyi nti ku Mmande mu nsi yonna teri mupiira bawagizi gwe baagala kulaba okuggyako guno," Emery bwe yagambye, n'agattako nti bagenda kulwana okulaba nga batuukiriza ebigendererwa byabwe.

MAN UNITED

Omupiira guno we gutuukidde nga Arsenal esinga ku ManU ffoomu kubanga mu mipiira gyayo etaano egisembeyo mu mpaka zonna, tewanguddwaamu, sso nga ManU mu gusembyeyo mu Premier ekubiddwa West Ham 2-0, ssaako okusiitaana okuvvuunuka Rochdale mu Carabao Cup.

Ng'oggyeeko ekyo, bassita baayo abamu babuusibwabuusibwa olw'obuvune. Kuliko; Paul Pogba, Anthony Martial ne Marcus Rashford, era omutendesi Ole Gunnar Solskjaer, yategeezezza nti tayinza kukakasa nti bayinza okubeera mu mupiira gwa leero.

Guno gwe gumu ku mipiira egyongera okussa akazito ku Solskjaer, era akimanyi nti alina okuguwangula asobole okuzza emitima gy'abawagizi, n'okuggyawo endowooza nti ManU tagisobola.

MANYA BINO

Guno gwe mulundi ogwokusatu nga ttiimu zino zisisinkana ku Mmande mu Premier.

Mu gyasembyeyo baagwa maliri (1-1) mu January 2000 ate ManU n'eguwangula 1-0 mu 2010.

Teri ttiimu kuva mu kibuga London yali ewangulidde ManU ku Old Trafford emirundi ebiri egy'omuddirihhanwa, okuva mu December 2001 (Chelsea ne West Ham)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Ku1 220x290

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe...

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo