TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Omutindo gwa ttimu za KCCA gutabudde abawagizi

Omutindo gwa ttimu za KCCA gutabudde abawagizi

By Moses Kigongo

Added 30th September 2019

Abawagizi ba KCCA bibatabudde ttiimu y'ekitongole nayo bw'eyolesezza omutindo ogw'ekibogwe

Mosesweb 703x422

Charles Otim (ku kkono) owa Vision Group ng'attunka n'omuzibizi wa CIC mu mpaka za Corporate League

 

OMUTINDO omubi ogwayoleseddwa  KCCA FC mu mpaka za Afrika, kulondodde ne ttiimu yaayo eyekitongole.

KCCA FC yawanduddwa Petro de Luanda okuva mu Angola, mu CAF Champions League oluvannyumalw'abazannyi baayo okwolesa omutindo ogw'ekibogwe, wabula ne KCCA Corporates n’eremwa okuwangula Uganda Coffe Development Authority (UCDA) gye yabadde eyita enjabayaba.

Abazannyi ba KCCA, abaakulembeddwa Henry Ssebunya (kapiteeni), baayingidde ekisaawe nga bagaya aba UCDA, kyokka gye byaggweeredde ng'entuuyo bazisaza bibatu oluvannyuma lwa UCDA okubalemerako n'ebakozesa amaliri ga 0-0.

Embeera eno yatabudde abazannyi ba KCCA ne batandika okweneenya n'okwesongamu enywe nga buli omu alumiriza munne okwemalirira n'okuzannyisa ekyejo.

Mu ngeri y'emu. Vision Group yavudde emabega okukola  amaliri ga 2-2 ne DFCU mu gumu ku mipiira egyanyumidde abawagizi olw'omalirivu abazannyi bwe baayolesezza.

Vision yasoose kuwangula CIC Insurance 1-0 nga tennakubwa CAA 1-0,  bwe bavuganya mu kibinja A ekikulembedwa Centenary Bank ku bubonero 64.

Mu miralala, Hotel Africana yakoze amaliri ga 1-1 ne CIPLA, UBL n’ekubwa Graphic System 2-1, ne Total n’ewangula URA 2-1.

Empaka zino zizannyibwa mu wiiki esembayo ku nkomerero ya buli mwezi

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko

Gugu 220x290

Museveni tayagala kuggya musolo...

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti tawagira kya gavumenti okubinika amasomero n’amatendekero ag’ebyenjigiriza...

Ssentebesserwangaomubakawantenjerusouthfredbasekerdcmwanamoizanabakunguabalalangabatemaevvuunikeawagendaokuzimbibwaessomerowebuse 220x290

Gavumenti yaakuzimbira ab'e Kayunga...

Ab'e Kayunga bagenda kuzimbirwa essomero lya siniya lya bbiriyooni bbiri nga n'evvuunike lyaggwa okutemebwa

Abantungabalingizamuddirisaokulabaomulambogwakantonoekifsaulwokulira 220x290

Asse mukazi we naye ye yeetuga...

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amutta n'amulesa ebbujje ery'emyezi musanvu